Isaiah 49:25-26

25 aNaye bw’ati bw’ayogera Mukama:

“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
era ndirokola mponye abaana bo.
26 bNdiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Copyright information for LugEEEE